2 Chronicles 14:15 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne balumba n’ebibinja by’abalaalo, ne batwala ente, n’endiga, n’embuzi, n’eŋŋamira nnyingi nnyo, ne balyoka baddayo e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne balumba ensiisira z'abamu ku basumba, ne banyaga ente, endiga n'eŋŋamira nnyingi nnyo, ne balyoka baddayo e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne balumba ensiisira z'abamu ku basumba, ne banyaga endiga n'eŋŋamiya nnyingi nnyo, ne baddayo e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne bakuba eweema ez'ente, ne banyaga endiga nnyingi nnyo n'eŋŋamira, ne baddayo e Yerusaalemi.