2 Chronicles 14:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yalagira Yuda anoonye Omukama Katonda wa bajjajjaabe n'okuwulira etteeka n'ebiragiro bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aggyawo ebyoto eby’abannamawanga n’ebifo ebigulumivu, era n’amenyaamenya empagi, n’ebifaananyi bya Asera n’abitemaatema.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aggyawo ebyoto ebya bannamawanga n'ebifo ebigulumivu, n'amenya empagi n'atemaatema ne bifaananyi bya Asera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aggyawo alutaari z'abagwira mu bifo ebigulumivu, n'amenya empagi ze basinza ez'amayinja, era n'atemaatema ebifaananyi bya lubaale Asera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga yaggyawo ebyoto ebya bannaggwanga n'ebifo ebigulumivu n'amenya empagi n’atemaatema ba Asera;