2 Chronicles 14:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaggya mu bibuga bya Yuda byonna ebifo ebigulumivu n'emyaliiro awanyookezebwanga obubaani; ensi n'etebenkera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alagira Yuda okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabe, era n’okukuuma amateeka ge n’ebiragiro bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alagira Yuda okunoonya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, n'okukwata amateeka ge n'ebiragiro bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alagira abantu b'omu Buyudaaya okukola ebyo Mukama Katonda wa bajjajjaabwe by'ayagala, n'okukwata amateeka ge n'ebiragiro bye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'alagira Yuda okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'okukwata amateeka n'ekiragiro.