2 Chronicles 14:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yazimba buto ebibuga mu Yuda okwali ebigo, kubanga ensi yali etebenkedde; tewali yamulumbagana mu myaka egyo, kubanga Omukama yamuwa obuweerero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’aggyawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto eby’obubaane mu bibuga byonna ebya Yuda, n’obwakabaka ne buba n’emirembe mu bufuzi bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'aggyawo mu bibuga byonna ebya Yuda, ebifo ebigulumivu n'ebyoto by'obubaane, obwakabaka ne buba ne mirembe mu biseera bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu bibuga byonna eby'omu Buyudaaya, n'aggyawo ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu ne alutaari ezooterezebwako obubaane. Obwakabaka ne buba mirembe mu biseera bye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'aggyawo mu bibuga byonna ebya Yuda ebifo ebigulumivu n'ebifaananyi by'enjuba: obwakabaka ne butereera mu maaso ge.