2 Chronicles 14:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yagamba Yuda nti: “Tuzimbe buto ebibuga bino, tubyetoolooze bbugwe, tusseeko eminaala enzigi n'emiyingo, kati ng'ensi ekyali yaffe; twanoonya Omukama Katonda waffe, twamunoonya naye n'atuwa obuweerero ku njuyi zonna.” Bwe batyo ne bazimba ne bibalamira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’azimba ebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, era ne wataba n’omu eyayaŋŋanga okulwana naye, kubanga Mukama yamuwa okuwummula ku njuyi zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'azimba ebibuga ebiriko ebigo mu Yuda, kubanga ensi yalimu emirembe. Asa teyalina ntalo mu kiseera kye, kubanga Mukama yamuwa emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'azimba ebigo ebigumu okwetoolooza ebibuga byonna eby'omu Buyudaaya, kubanga ensi yalimu emirembe. Mu myaka egyo, Asa teyalina ntalo, kubanga Mukama yamuwa emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'azimba ebibuga ebiriko enkomera mu Yuda: kubanga ensi yali eteredde so teyalina ntalo mu myaka egyo; kubanga Mukama yamuwa okuwummula.