2 Chronicles 14:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asa yalina eggye ly'abasajja obusiriivu busatu okuva mu Yuda abakwata engabo n'amafumu, ate n'abasajja obusiriivu bubiri mu emitwalo munaana okuva mu Benyamiini abakwata engabo entono n'obusaale. Bano bonna nga basajja abatabaazi abazira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba Yuda nti, “Tuzimbe ebibuga bino, tubiteekeko bbugwe, ne wankaaki n’emitayimbwa. Ensi ekyali yaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, n’atuwa emirembe ku buli luuyi.” Ne bazimba era ne bagaggawala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Asa n'agamba abantu ba Yuda nti, “Tuzimbe ebibuga bino, tubyetooloozeko ebigo ebigumu n'eminaala n'emiryango egiriko ebisiba. Ensi ekyali yaffe, kubanga tukoze ebyo Mukama Katonda waffe by'ayagala. Tumunoonyezza, naye atuwadde emirembe ku buli ludda.” Awo ne bazimba ne baba bulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yagamba abantu b'omu Buyudaaya nti: “Tuzimbe ebibuga bino, tubyetooloozeeko ebigo ebigumu n'eminaala, n'emiryango egiriko ebisiba. Ensi ekyali yaffe, kubanga tukoze ebyo Mukama Katonda waffe by'ayagala. Tukoze by'ayagala, n'atuwa emirembe ku buli ludda.” Awo ne bazimba, ne baba bulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga yagamba Yuda nti Tuzimbe ebibuga bino, tubikoleko bbugwe n'ebigo, enzigi n'ebisiba; ensi ekyali mu maaso gaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, naye atuwadde okuwummula enjuyi zonna. Awo ne bazimba ne balaba omukisa.