2 Chronicles 14:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zeraki Omukuusi yabalumbagana n'eggye ly'abasajja nkumi na nkumi n'ebigaali ebikumi bisatu, n'ajja okutuukira ddala e Maresa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asa yalina eggye nga lya basajja emitwalo amakumi asatu okuva mu Yuda, nga balina engabo ennene n’amafumu, n’abalala emitwalo amakumi abiri mu munaana abaava mu Benyamini nga balina engabo entono n’obusaale, era bonna nga basajja bazira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Asa yalina eggye lya basajja emitwalo asatu (300,000), okuva mu kika kya Yuda, abaakwatanga engabo n'amafumu, n'abasajja emitwalo abiri mu munaana (280,000) okuva mu kika kya Benyamini, abaakwatanga engabo n'obusaale, era nga bonna basajja bazira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Asa yalina eggye lya basajja emitwalo amakumi asatu, okuva mu Kika kya Yuda, abakwata engabo n'amafumu, n'abasajja emitwalo abiri mu munaana, okuva mu Kika kya Benyamiini, abalina engabo n'emitego gy'obusaale. Abo bonna baali basajja ba maanyi, bazira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Asa yalina eggye abaakwatanga engabo n'amafumu, abaava mu Yuda obusiriivu busatu; n'abaava mu Benyamini abaakwatanga engabo ne banaanuula emitego, obusiriivu bubiri mu obukumi munaana: abo bonna basajja ba maanyi abazira.