2 Chronicles 14:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asa n'avaayo okumusisinkana; ne beetegekera okulwanagana mu kiwonvu ky'e Zefata okumpi ne Maresa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku lumu, Zeera Omwesiyopya n’abalumba ng’alina eggye lya basajja akakadde kamu, n’amagaali ebikumi bisatu, n’atuuka n’e Malesa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lumu Zeera Omuwesiyopya n'alumba Yuda ng'alina eggye lya basajja akakadde kamu (1,000,000) n'amagaali bisatu (300); n'ajja n'atuuka n'e Malesa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Zeera Omwetiyopiya n'abalumba n'eggye lya basajja akakadde kamu, n'amagaali ebikumi bisatu. N'ajja n'atuuka e Maresa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zeera Omwesiyopya n'abatabaala ng'alina eggye kakadde n'amagaaii ebikumi bisatu; n'ajja e Malesa.