2 Chronicles 15:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo ne batambirira Omukama ente lusanvu n'endiga kasanvu ku by'omunyago bye baali baleese.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo ne bawaayo eri Mukama ebimu ku by’omunyago: ente lusanvu, n’endiga n’embuzi zonna kasanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama: ente lusanvu (700) n'endiga kasanvu (7,000), nga baziggya ku munyago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo ne bawaayo ebitambiro eri Mukama: ente lusanvu, n'endiga kasanvu, nga baggya ku munyago gwe baaleeta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baweerayo ku lunaku olwo eri Mukama nga baggya ku munyago gwe baaleeta ente lusanvu n'endiga kasanvu.