2 Chronicles 15:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ataali wa kunoonya Mukama, Katonda wa Yisirayeli, abeere mutene oba mukulu, abeere musajja oba mukazi, yali wa kuttibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era abo bonna abatanoonyanga Mukama, Katonda wa Isirayiri battibwanga, oba bato oba bakulu, oba bakazi oba basajja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era buli muntu atakkirizenga kunoonya Mukama, Katonda wa Isiraeri, attibwenga, oba muto oba mukulu, oba musajja oba mukazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu, oba mukulu oba muto, oba musajja oba mukazi, anaagaananga okusinza Mukama Katonda wa Yisirayeli, anattibwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era buli atakkirizenga kunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri attibwenga, oba muto oba mukulu, oba musajja oba mukazi.