2 Chronicles 15:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Asa n'aggya nnyina Maaka ku bwannamasole, kubanga yali akoze ekyenyinyalwa eky'empagi ya Asera. Asa yasigulawo ekyenyinyalwa ky'empagi n'agyokera mu Kiwonvu Kiduroni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Asa n’agoba jjajjaawe Maaka ku bwannamasole kubanga yali akoze ekifaananyi ekyole ekya Asera. Asa n’akitemaatema n’akimenyaamenya, n’akyokera mu kagga Kidulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Asa n'agoba Maaka nnyina ku bwa nnamasole, kubanga yali akoze ekifaananyi ekyole eky'Asera. Asa n'akitematema, n'akimenyamenya, n'akyokera ku kagga Kidulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Kabaka Asa n'assaako n'okugoba Maaka nnyina ku bwannamasole, kubanga yali akoze ekifaananyi kya lubaale Asera eky'omuzizo. Asa n'akitema, n'akyasaayasa, n'akyokera ku kagga Kidurooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne Maaka nnyina Asa kabaka n'amugoba mu bwannamasole kubanga yali akoze ekifaananyi ky'omuzizo okuba Asera; Asa n'atema ekifaananyi kye n'akifuula nfuufu n'akyokera ku kagga Kidulooni.