2 Chronicles 15:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaleeta mu Kiggwa ky'Omukama ffeeza, zaabu n'ebintu ebikozesebwa ye ne kitaawe bye baali bawonzeeyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu yeekaalu ya Mukama n’aleetamu effeeza ne zaabu, n’ebintu ye ne kitaawe bye baawonga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ateeka mu nnyumba ya Katonda, ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu, kitaawe bye yawonga n'ebyo ye yennyini bye yawonga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yateeka mu Ssinzizo ebintu ebya zaabu n'ebya ffeeza, kitaawe bye yawongera Katonda, era n'ebyo ye yennyini bye yawonga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayingiza mu nnyumba ya Katonda ebintu kitaawe bye yawonga n'ebintu bye yawonga ye yennyini, effeeza n'ezaabu n'ebintu.