2 Chronicles 15:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agenda okusisinkana Asa, n'amugamba nti: “Mumpulirize, ggwe Asa ne Yisirayeli yenna ko ne Benyamiini. Omukama ali nammwe bwe mubeera naye. Bwe munaamunoonya, ajja kubawa mumuzuule, naye bwe munaamwabulira naye ajja kubaabulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’agenda n’asisinkana Asa n’amugamba nti, “Mumpulirize, mmwe Asa, ne Yuda ne Benyamini mwenna, Mukama ali nammwe bwe muba mu ye. Bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga, naye bwe munaamulekuliranga naye anaabalekuliranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agenda okusisinkana Asa n'amugamba nti, “Mumpulirize, mmwe Asa, ne Yuda yonna ne Benyamini: Mukama ali nammwe bwe munaabanga naye; era bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga; bwe munaamuvangako, naye anaabavangako mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Azariya oyo n'agenda ewa Asa, n'amugamba nti: “Ayi Kabaka Asa, nammwe aba Yuda n'aba Benyamiini, muwulire kye ŋŋamba. Mukama ali nammwe, singa nammwe muba naye. Bwe mumunoonya, mumuzuula. Bwe mumuvaako, naye ng'abavaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'afuluma okusisinkana Asa n'amugamba nti Mumpulire, mmwe Asa ne Yuda yenna ne Benyamini: Mukama ali nammwe bwe munaabanga naye; era bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga; naye bwe munaamuvangako, anaabavangako mmwe.