2 Chronicles 15:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo nga kizibu omuntu okubaako ky'akola awatali kutya, kubanga abantu bonna mu nsi baali batabanguse nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo tewaali mirembe abantu okutambula nga bwe baayagalanga, kubanga baali mu kweraliikirira kungi nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu biro ebyo nga tewali muntu yatambulanga mirembe, n'agenda n'adda nga bw'ayagala, kubanga abantu bonna mu bitundu byabwe babanga mu kweraliikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biseera ebyo, tewaali muntu yatambulanga mirembe, n'agenda n'adda nga bw'ayagala, kubanga mu bitundu byonna eby'eggwanga, abatuuze bonna baabanga mu kweraliikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu biro ebyo nga tewali mirembe eri oyo eyafulumanga newakubadde eri oyo eyayingiranga, naye okweraliikirira kungi ne kuba ku bonna abaatuula mu nsi ezo.