2 Chronicles 15:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asa bwe yawulira obubaka bwa Azariya omulanzi mutabani wa Odedi, n'aguma. Yaggya ebifaananyi bya balubaale ebyenyinyalwa mu Yuda mwonna ne mu Benyamiini, ne mu bibuga by'omu nsozi za Efurayimu bye yali akutte, n'addaabiriza omwaliiro gw'Omukama ogwali mu maaso g'ekisasi ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n’ebyobunnabbi bwa Azaliya mutabani wa Obedi, n’aguma omwoyo, n’aggyawo ebifaananyi ebyole okuva mu nsi yonna eya Yuda ne Benyamini, n’okuva mu bibuga bye yali awambye mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu. N’addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali mu maaso g’ekisasi ekya yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ebyo Odedi nnabbi bye yayogera, n'aguma omwoyo, n'aggyawo ebifaananyi byonna ebyasinzibwanga mu nsi yonna eya Yuda n'eya Benyamini, ne mu bibuga bye yali awambye mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu. Era n'azza obuggya ekyoto kya Mukama ekyali mu luggya lw'ennyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Asa bwe yawulira ebigambo ebyo eby'obulanzi, Azariya mutabani wa Obedi bye yayogera, n'aguma omwoyo. N'aggyawo ebifaananyi byonna ebyasinzibwanga mu nsi eya Yuda n'eya Benyamiini, n'ebyo ebyali mu bibuga byonna, bye yawamba mu nsi ey'ensozi eya Efurayimu. Era alutaari ya Mukama eyali mu maaso g'Essinzizo n'agizza buggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ebyo Odedi nnabbi bye yalagula, n'aguma omwoyo n'aggyawo eby'emizizo byonna mu nsi yonna eya Yuda ne Benyamini ne mu bibuga bye yaggya ku nsi ey'ensozi eya Efulayimu; n'azza obuggya ekyoto kya Mukama ekyali mu maaso g'ekisasi kya Mukama.