2 Chronicles 15:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akuŋŋaanya Yuda yenna ne Benyamiini, n'abasenze abaali bavudde mu Efurayimu, Manasse ne Simewoni, anti bangi baali baddukidde gy'ali nga bavudde mu Yisirayeli nga balabye Omukama Katonda we ali naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akuŋŋaanya aba Yuda n’aba Benyamini bonna, n’abantu b’e Efulayimu, n’e Manase, n’e Simyoni abaabeeranga nabo, kubanga bangi basenga gyali okuva mu Isirayiri bwe baalaba nga Mukama Katonda ali wamu naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Asa n'akuŋŋaanya ab'ekika kya Yuda bonna n'ab'ekya Benyamini, n'abo abaabeeranga mu bo, nga baava mu bitundu: ekya Efulayimu, Manase ne Simyoni: kubanga baamusenga bangi nnyo nga bava mu Isiraeri, bwe baalaba nga Mukama Katonda we ali naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Asa n'akuŋŋaanya ab'Ekika kya Yuda bonna, n'Ababenyamiini, n'abalala abaabeeranga mu bo, nga bava mu bitundu: ekya Efurayimu, n'ekya Manasse, n'ekya Simyoni. Kubanga bangi nnyo abaava mu Yisirayeli ne basenga mu bwakabaka bwe, bwe baalaba nga Mukama Katonda we ali naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akuŋŋaanya Yuda yenna ne Benyamini n'abo abaabeeranga nabo abaava mu Efulayimu ne Manase ne mu Simyoni: kubanga baamusenga bangi nnyo nga bava mu Isiraeri, bwe baalaba nga Mukama Katonda we ali naye.