2 Chronicles 16:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'asatu mu omukaaga ogw'obwakabaka bwa Asa, Baasa kabaka wa Yisirayeli yalumba Yuda, n'azimba ekigo ku Rama wabulewo afuluma okugenda oba ayingira ng'ava ewa Asa kabaka wa Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omukaaga ogw’obufuzi bwa Asa, Baasa kabaka wa Isirayiri n’alumba Yuda, n’azimba ebigo ku Laama okuziyiza omuntu yenna okuyingira wadde okufuluma mu nsalo ya Asa kabaka wa Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu mwaka ogwa asatu mu mukaaga (36) ogw'obufuzi bwa Asa, Baasa, kabaka wa Isiraeri, n'alumba Yuda. N'azimba ekigo ekigumu ku Laama okuziyiza omuntu yenna okuva mu Yuda, wadde okugendayo, okusobola okutuuka eri Asa kabaka wa Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'asatu mu omukaaga ogw'obufuzi bwa Asa, Baasa, Kabaka wa Yisirayeli n'alumba Buyudaaya. N'azimba ekigo ekigumu ku kibuga Raama, waleme kubaawo asobola okuva mu Buyudaaya, wadde okugendayo, okutuuka ku Asa, kabaka waayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu mwaka ogw'asatu mu mukaaga ogw'okufuga kwa Asa, Baasa kabaka wa Isiraeri n'atabaala Yuda, n'azimba Laama obutaganya muntu kufuluma newakubadde okuyingira eri Asa kabaka wa Yuda.