2 Chronicles 16:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asa n'anyiigira omulabi olw'ebigambo ebyo, n'olw'obusungu obungi n'alagira okumussa mu nvuba. Ate mu budde obwo Asa yali anyigiriza n'obukambwe abamu mu bantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Asa n’anyiigira nnyo omulabi, n’amuteeka ne mu kkomera. Mu kiseera kye kimu Asa n’ayisa bubi nnyo abantu abamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Asa n'asunguwalira nnyo nnabbi, kyeyava amukwata n'amuteeka mu kkomera. Mu biseera ebyo, Asa n'ayisa bubi nnyo abantu abamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Asa n'asunguwalira nnyo omulanzi olw'ebigambo ebyo, kyeyava amukwata n'amuteeka mu kkomera. Mu biseera ebyo, Asa n'ayisa bubi abantu abamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Asa n'alyoka asunguwalira omulabi, n'amuteeka mu nju ey'ekkomera; kubanga yali amuliko ekiruyi olw'ekigambo ekyo. Asa n'ajooga abamu ku bantu mu biro ebyo.