2 Chronicles 16:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asa, mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omwenda ogw'obwakabaka bwe yalwala ebigere. Newandibadde mu bulwadde bwe yalumizibwa nnyo, naye teyanoonya buyambi bwa Mukama, yasinga kwesiga magezi ga basawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwe, Asa n’alwala ebigere. Newaakubadde ng’obulwadde bweyongera, teyanoonyanga buyambi okuva eri Mukama, yabunoonyanga mu basawo bokka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'asatu mu mwenda ogw'obufuzi bwe, Asa n'alwala ebigere, n'aba bubi nnyo. Naye newakubadde yalumizibwa nnyo, teyasaba Mukama kumuwonya, wabula yakozesa basawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Asa mu mwaka gwe ogw'amakumi asatu mu omwenda ku bwakabaka, n'alwala ebigere, n'aba bubi nnyo. Naye newaakubadde yalumizibwa nnyo, n'atasaba Mukama kumuwonya, wabula n'akozesa basawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwenda ogw'okufuga kwe Asa n'alwala ebigere; endwadde ye n'enyiikira nnyo: naye bwe yalwala n'atagenda eri Mukama naye eri abasawo.