2 Chronicles 16:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'ana mu ogumu ogw'obwakabaka bwe, Asa n'afa, n'agalamira ne bajjajjaabe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu mwaka ogw’amakumi ana mu ogumu ogw’obufuzi bwe, Asa ne yeebakira awamu ne bajjajjaabe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu mwaka ogw'ana mu gumu (41), Asa naafa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka gwe ogw'amakumi ana mu ogumu ku bwakabaka, ne yeegatta ku bajjajjaabe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'afiira mu mwaka ogw'ana mu gumu ogw'okufuga kwe.