2 Chronicles 16:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asa n'addira ffeeza yenna ne zaabu eyali asigadde mu nkuluze y'Ekiggwa ky'Omukama ne mu nkuluze y'olubiri lwa kabaka, n'abiweereza ewa Beni-Adadi kabaka wa Aramu eyafugiranga e Damasiko, n'agamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Asa n’addira ffeeza ne zaabu ebyali mu mawanika ga yeekaalu ya Mukama, n’ebyali mu lubiri lwa kabaka, n’abiweereza Benikadadi kabaka w’e Busuuli, eyabeeranga e Ddamasiko, n’aweereza n’obubaka nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Asa n'aggya effeeza n'ezaabu muggwanika ly'omu nnyumba ya Mukama, ne mu lubiri lwe, n'abiweereza Benikadadi kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, n'obubaka buno nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Asa n'aggya ffeeza ne zaabu mu ggwanika ly'Essinzizo, ne mu lubiri lwe, n'abiweereza Benihadadi, Kabaka wa Siriya, eyabeeranga e Damasiko, ng'amutumira nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Asa n'aggya effeeza n'ezaabu mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'omu nnyumba ya kabaka, n'atumira Benikadadi kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, ng'ayogera nti