2 Chronicles 16:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tukole endagaano wakati wange naawe, ng'eyaliwo wakati wa kitange ne kitaawo; kyenvudde nkuweereza ffeeza ne zaabu. Nkusaba omenyewo endagaano gy'olina ne Baasa kabaka wa Yisirayeli, anveeko.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Wabeerewo endagaano wakati wo nange, ng’eri eyaliwo wakati wa kitange ne kitaawo. Laba, nkuweerezza ffeeza ne zaabu omenyewo endagaano yo wakati wo ne Baasa kabaka wa Isirayiri, anveeko.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Wabeerewo endagaano wakati wo nange, ng'eri eyaliwo wakati wa kitange ne kitaawo. Laba, nkuweereza ffeeza ne zaabu, omenyewo endagaano yo ne Baasa kabaka wa Isiraeri anveeko.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tukole endagaano ey'okukolaganiranga awamu, nga bakitaffe gye baakola. Nkuweerezza ffeeza ne zaabu. Genda omenyewo endagaano y'enkolagana ne Baasa, Kabaka wa Yisirayeli, anveeko.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo endagaano eri nze naawe, nga bwe yali eri kitange ne kitaawo: laba, nkuweerezza ffeeza n'ezaabu: genda omenye endagaano yo eri Baasa kabaka wa Isiraeri anveeko.