2 Chronicles 16:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beni-Adadi n'akkiriza ebya Asa, n'asindika abagabe b'eggye mu bibuga bya Yisirayeli, ne bakuba Yiyoni, Daani, Abeli-Mayimu, n'ebibuga by'amawanika eby'omu Nafutali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Benikadadi n’akkiriziganya ne kabaka Asa, era n’aweereza abaduumizi b’eggye lye okulumba ebibuga bya Isirayiri; ne bawamba Yiyoni, ne Ddaani ne Aberumayimu, n’ebibuga byonna eby’amaterekero ebya Nafutaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Benikadadi n'akkiriziganya ne kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri: ne bawamba Iyoni, Ddaani, Aberumayimu n'ebibuga byonna eby'amawanika ebya Nafutaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Benihadadi n'akkiriza Kabaka Asa kye yamusaba. N'atuma abakulu b'amagye ge, okulumba ebibuga bya Yisirayeli. Ne bawamba Yiyoni, ne Daani ne Abeli Ayimu, n'ebibuga byonna ebya Nafutaali ebiterekebwamu ebintu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Benikadadi n'awulira kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri; ne bakuba Iyoni ne Ddaani ne Aberumayimu n'ebibuga byonna eby'okuterekeramu ebya Nafutaali.