2 Chronicles 16:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Asa n'aleeta Yuda yenna ne baggya e Rama amayinja n'emiti Baasa bye yali azimbisa, n'abyeyamba okuzimba Geba ne Mizupa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Asa n’aleeta Yuda yenna e Laama, ne baggyayo amayinja n’embaawo Baasa bye yali azimbisa, Asa n’abikozesa okuzimba Geba ne Mizupa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Asa n'atwala abasajja ba Yuda, ne baggyawo amayinja n'emiti, Baasa bye yali azimbisa, n'abikozesa okuzimba Geba ne Mizupa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Asa n'atwala ab'omu Buyudaaya bonna, ne baggyawo amayinja n'emiti, Baasa bye yazimbisanga e Raama, Asa n'abizimbisa Geba ne Mizupa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Asa n'amenya Yuda yenna; ne baggyawo amayinja ag'e Laama n'emiti gyakyo. Baasa bye yazimbya; n'abizimbya Geba ne Mizupa.