2 Chronicles 16:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Kanani omulabi yajja ewa Asa kabaka wa Yuda n'amugamba nti: “Kubanga weesize kabaka wa Aramu n'oteesiga Mukama Katonda wo, kale nno eggye lya kabaka wa Aramu lisumattuse mu mukono gwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo Kanani omulabi n’ajja eri Asa kabaka wa Yuda, n’amugamba nti, “Olw’okwesiga kabaka w’e Busuuli mu kifo ky’okwesiga Mukama Katonda wo, eggye lya kabaka w’e Bwasuli kyelivudde likuddukako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kiseera ekyo, Kanani nnabbi, n'agenda eri Asa kabaka wa Yuda, n'amugamba nti, “Kubanga weesiga kabaka w'e Busuuli, n'oteesiga Mukama Katonda wo, eggye lya Isiraeri kye livudde likusumattuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo, omulanzi Hanani n'agenda ewa Asa Kabaka wa Buyudaaya, n'amugamba nti: “Kubanga weesize Kabaka wa Siriya, n'oteesiga Mukama Katonda wo, eggye lya Yisirayeli kyelivudde likusumattuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mu biro ebyo Kanani omulabi n'ajja eri Asa kabaka wa Yuda n'amugamba nti Kubanga weesiga kabaka w'e Busuuli n'oteesiga Mukama Katonda wo, eggye lya kabaka w'e Busuuli kye livudde liwona mu mukono gwo.