2 Chronicles 16:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eggye ly'Abakuusi n'Abalibiya teryali ddene, nga lirina mu bungi nnyo ebigaali n'abeebagazi? Naye bwe weesiga Omukama, yabakuwa mu mikono gyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaesiyopiya n’Abalubimu tebaali ggye ddene nga balina amagaali mangi n’abeebagala embalaasi bangi? Naye, olwokubanga weesiga Mukama, kyeyava abagabula mu mukono gwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaesiyopya n'Abalubimu tebaali ggye ddene nga balina amagaali mangi n'abeebagala embalaasi bangi? Naye kubanga weesiga Mukama, yabakuwa n'obawangula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abeetiyopiya n'Abalibiya tebaali ggye ddene nnyo, omuli amagaali n'abeebagazi b'embalaasi abangi ddala? Naye kubanga weesiga Mukama, Mukama yabakuwa n'obawangula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaesiyopya n'Abalubimu tebaali ggye ddene kitalo, nga baalina amagaali n'abeebagala embalaasi bangi nnyo nnyini? naye kubanga weesiga Mukama, yabagabula mu mukono gwo.