2 Chronicles 16:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti amaaso g'Omukama gayitaayita ku nsi yonna okugumya abo abamwemalizza. Kino ky'okoze kya busiru, era n'okuva kati onoobanga mu ntalo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga amaaso ga Mukama galaba wonna mu nsi, nga ganyweza emitima gy’abo abamwesigira ddala. Ky’okoze kya busirusiru, era okuva ne leero ojja kubeeranga n’entalo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga amaaso ga Mukama galaba okubuna ensi yonna, okweraga nga bw'ali ow'amaanyi okukuuma abo abamwesigira ddala. Kino ky'okoze kya busiru, olw'ekyo, okuva leero ojja kubanga n'entalo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaaso ga Mukama galaba eno n'eri okubuna ensi yonna, okweraga nga bw'ali ow'amaanyi mu kukuuma abo ab'omutima ogumweweera ddala. Kino ky'okoze kya busiru. Okuva kati onoobanga n'entalo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw'ali ow'amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy'ali. Mu kino okoze eky'obusirusiru; olw'ekyo okuva leero ojja kubanga n'entalo.