2 Chronicles 17:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entiisa y'Omukama n'ekwata obwakabaka bw'amawanga gonna agaali geetoolodde Yuda, nga tebaguma kunaawuula lutalo ku Yosafati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo entiisa ya Mukama n’egwa ku bwakabaka obw’amawanga agaali geetoolodde Yuda, ne batakola ntalo na Yekosafaati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Entiisa ya Mukama n'egwa ku bwakabaka bwonna obw'ensi ezeetoolodde Yuda, ne batalwanyisa Yekosafaati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'akuba entiisa ab'omu bwakabaka bwonna obwetoolodde Buyudaaya, ne batalwanyisa Yehosafaati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Entiisa ya Mukama n'egwa ku bwakabaka bwonna obw'ensi ezeetoolodde Yuda, n'okulwana ne batalwana ne Yekosafaati.