2 Chronicles 17:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yalina n'ebintu bingi ebizibizi mu bibuga bya Yuda; ne mu Yeruzaalemu ng'akuumiramu abasajja abatabaazi abazira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abeera n’ebyamaguzi bingi ddala mu bibuga bya Yuda. Yalina n’abaserikale abatendeke mu Yerusaalemi nga bazira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yalina ebintu bingi mu bibuga bya Yuda. Yalina abasserikale abasajja ab'amaanyi era abazira mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aba n'amawanika mangi mu bibuga bya Buyudaaya. N'ateeka mu Yerusaalemu abaserikale, abasajja ab'amaanyi era abazira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yalina emirimu mingi mu bibuga bya Yuda; n'abasajja abalwanyi n'abasajja ab'amaanyi abazira mu Yerusaalemi.