2 Chronicles 17:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali bawandiikiddwa bwe bati nga bagoberera ennyumba za bajjajjaabwe: Okuva mu Yuda eyakuliranga abagabe b'enkumi nga ye Aduna; yaliko abasajja abatabaazi obusiriivu busatu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okubalibwa ng’enju za bakitaabwe bwe zaali kwali bwe kuti: Okuva mu Yuda, abaduumizi ab’ebibinja eby’olukumi (1,000) baali: Aduna omuduumizi ow’abasajja abalwanyi emitwalo amakumi asatu (300,000),
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kuno kwe kwali okubalibwa kwabwe ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali: okuva mu kika kya Yuda, Aduna ye yali akulira abaduumizi ab'ebinja eby'olukumi, abasajja ab'amaanyi emitwalo asatu (300,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga batereezeddwa mu bika byabwe. Aduna ye yali akulira banne abaduumira ebibinja by'olukumi lukumi, ab'omu Kika kya Yuda, nga bonna awamu akulira abaserikale ab'amaanyi emitwalo amakumi asatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kuno kwe kwali okubalibwa kwabwe ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali; ku Yuda abaami b'enkumi; Aduna omwami, era wamu naye abasajja ab'amaanyi abazira obusiriivu busatu: