2 Chronicles 17:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
amuddirira nga ye Yokanani, omuduumizi; yaliko obusiriivu bubiri mu emitwalo munaana;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’eyamuddiriranga yali Yekokanani omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri mu munaana (280,000);
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'eyamuddirira yali Yekokanani omuduumizi w'abasirikale emitwalo abiri mu munaana (280,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehohanaati ye yali omuduumizi amuddirira, ng'akulira abaserikale emitwalo amakumi abiri mu munaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'eyamuddirira Yekakanani omwami, era wamu naye obusiriivu bubiri mu obukumi munaana: