2 Chronicles 17:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
addirira oyo nga ye Amasiya mutabani wa Zikuri, eyali yeewaddeyo kyeyagalire okuweereza Omukama; yaliko abasajja abatabaazi obusiirivu bubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’eyamuddiriranga yali Amasiya mutabani wa Zikuli, eyeewaayo obwebange okuweerezanga Mukama, omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri (200,000).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'okusatu yali Amasiya, mutabani wa Zikuli, eyeewaayo ku bubwe okuweereza Mukama, yali aduumira abasserikale, abasajja ab'amaanyi era abazira, emitwalo abiri (200,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Owookusatu yali Amasiya, mutabani wa Zikuri, ng'akulira abaserikale ab'amaanyi emitwalo amakumi abiri. Amasiya ono, ye yeewaayo yekka okuweereza Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'eyamuddirira Amasiya mutabani wa Zikuli, eyeewaayo ku bubwe eri Mukama; era wamu naye abasajja ab'amaanyi abazira obusiriivu bubiri: