2 Chronicles 17:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
amuddirira nga ye Yozabadi ng'aliko abasajja akasiriivu kamu mu emitwalo munaana abeetegekedde okulwana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’eyamuddiriranga ye yali Yekozabadi eyaduumiranga abasajja emitwalo kkumi na munaana abaali beeteeseteese okulwana (180,000).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyali amuddirira yali Yekozabadi, nga aduumira abasserikale, abeeteeseteese okulwana, emitwalo kumi na munaana (180,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyali amuddirira mu bukulu, yali Yehozabaadi, ng'akulira abaserikale omutwalo gumu mu kanaana, abategeke obulungi mu by'okulwana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'eyamuddirira Yekozabadi, era wamu naye akasiriivu mu obukumi munaana, abeeteeseteese okulwana.

Recommended Reading