2 Chronicles 17:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yassa amagye mu bibuga byonna ebya Yuda ebyaliko ebigo, n'azimba enkambi mu Yuda ne mu bibuga bya Efurayimu kitaawe Asa bye yali awambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ateeka abaserikale mu bibuga ebiriko bbugwe ebya Yuda, n’ateeka n’eggye mu Yuda, ne mu bibuga ebya Efulayimu, kitaawe Asa bye yali awambye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ateeka amaggye mu bibuga byonna ebiriko bbugwe bya Yuda, n'ateeka ebigo mu nsi ya Yuda, ne mu bibuga bya Efulayimu, Asa kitaawe bye yawamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ateeka amagye mu bibuga byonna eby'omu byalo ebya Buyudaaya, ne mu bibuga by'omu Efurayimu, Asa kitaawe bye yawamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ateeka eggye mu bibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda n'ateeka ebigo mu nsi ya Yuda ne mu bibuga bya Efulayimu, Asa kitaawe bye yalya.