2 Chronicles 17:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yali ne Yosafati, kubanga mu kusooka yatambuliranga mu makubo ga jjajjaawe Dawudi ge yagobereranga. Teyeebuuza ku Babaali
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’abeera wamu ne Yekosafaati kubanga mu buto bwe yatambuliranga mu makubo ga jjajjaawe Dawudi ge yatambulirangamu. Teyeebuuza ku Babaali,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'abeera wamu ne Yekosafaati, kubanga yatambuliranga mu mpisa ennungi eza kitaawe ezasooka, n'atagenda eri Babaali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'awa Yehosafaati omukisa, kubanga yagoberera empisa ennungi eza kitaawe ezasooka, ez'obutasinzanga balubaale abayitibwa Baali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'aba ne Yekosafaati, kubanga yatambuliranga mu makubo ag'olubereberye aga kitaawe Dawudi n’atagenda eri ba Baali;