2 Chronicles 17:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'anyweza obwakabaka mu mikono gye. Yuda yenna n'awa Yosafati ebirabo; bw'atyo n'aba n'obugagga n'ekitiibwa bingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’anyweza obwakabaka mu mukono gwe, era Yuda yenna ne baleetera Yekosafaati ebirabo, n’aba n’obugagga bungi n’ekitiibwa kinene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyeyava anyweza obwakabaka mu mukono gwe; Yuda yenna n'aleetera Yekosafaati ebirabo; n'aba n'obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama kyeyava anyweza obwakabaka bwa Yehosafaati, ab'omu Buyudaaya bonna ne baleetera Yehosafaati amakula, n'agaggawala era n'aba wa kitiibwa nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyeyava anyweza obwakabaka mu mukono gwe; Yuda yenna n'aleetera Yekosafaati ebirabo; n'aba n'obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo.