2 Chronicles 17:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gwe gwemaliza okugoberera amakubo g'Omukama, n'amalawo mu Yuda ebifo ebigulumivu n'empagi za Asera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima gwe ne gunywerera mu kkubo lya Mukama, n’okuggyawo n’aggyawo ebifo ebigulumivu n’ebifaananyi bya Baasera mu Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutima gwe ne gunywerera mu kkubo lya Mukama: n'aggyawo ebifo ebigulumivu nebifaananyi bya Asera mu Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne yeenyumiririza mu kuweereza Mukama, era n'aggyawo mu Buyudaaya ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, n'ebifaananyi bya lubaale Asera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gwe ne gugulumizibwa mu makubo ga Mukama: era n'aggyawo ebifo ebigulumivu ne Baasera mu Yuda.