2 Chronicles 17:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwokusatu ogw'obwakabaka bwe yasindika abakungu be: Beni-Kayili, Obadiya, Zakariya, Netaneli ne Mikaaya, bayigirize mu bibuga bya Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwe, n’atuma abakungu be bano: Benikayiri, ne Obadiya, ne Zekkaliya, ne Nesaneeri, ne Mikaaya okugenda nga bayigiriza mu bibuga bya Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwe, n'atuma abakungu be; Benikayiri, Obadiya, Zekkaliya, Nesaneeri ne Mikaaya okuyigiriza mu bibuga bya Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwe, n'atuma abakungu be: Benihayili ne Obadiya, ne Zekariya, ne Netaneeli, ne Mikaaya okuyigiriza mu bibuga bya Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mu mwaka ogw'okusatu ogw'okufuga kwe n'atuma abakungu be, Benikayiri ne Obadiya ne Zekkaliya ne Nesaneeri ne Mikaaya okuyigiriza mu bibuga bya Yuda;