2 Chronicles 17:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne basomesanga wonna mu Yuda nga balina ekitabo ky'Etteeka ly'Omukama. Ne beetooloolanga ebibuga bya Yuda byonna nga basomesa abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bayigiriza mu Yuda yonna, nga bakozesa Ekitabo ekya Mateeka ga Mukama; ne babuna mu bibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bayigiriza mu Yuda nga bakozesa ekitabo eky'amateeka ga Mukama; ne batambulanga okubuna ebibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza mu bantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batwala ekitabo ky'Amateeka ga Mukama, ne bayigiriza ab'omu Buyudaaya. Ne bayitaayita mu bibuga byonna ebya Buyudaaya, nga bayigiriza abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bayigiriza mu Yuda nga balina ekitabo eky'amateeka ga Mukama; ne batambulanga okubuna ebibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza mu bantu.