2 Chronicles 18:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno Zedekiya mutabani wa Kenaana yali yeekoledde amayembe ag'ekyuma, n'agamba nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Na gano ojja kutomera Aramu okutuusa ng'omuzikirizza.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeeweesereza amayembe ag’ekyuma, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Abasuuli balitomerwa na gano okutuusa lwe balimalibwawo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana eyali yeeweesereza amayembe ag'ekyuma. n'agamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama, nti Olitomera Abasuuli na gano, okutuusa lwe balimalibwawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Zeddeekiya mutabani wa Kenaana, ne yeekolera amayembe ag'ekyuma, n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Amayembe gano g'oneeyambisa okulwanyisa Abassiriya, okutuusa lw'olibasaanyaawo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag'ebyuma n'ayogera nti bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olitomera Abasuuli na gano okutuusa lwe balimalibwawo.