2 Chronicles 18:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abalanzi bonna baali balanga kimu nga bagamba nti: “Lumba Ramoti-Gileyaadi, ojja kuwangula. Omukama ajja kukiwaayo mu mikono gya kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne bannabbi abalala bonna baalagulanga kye kimu nti, “Yambuka olumbe Lamosugireyaadi onoowangula kubanga Mukama anaakiwaayo mu mukono gwa kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bannabbi bonna ne balagula bwe batyo, nga bagamba nti, “Genda olumbe Yambuka Lamosugireyaadi okiwangule, kubanga Mukama ajja kukuwa obuwanguzi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abalanzi abalala bonna ne balanga bwe batyo, nga bagamba nti: “Genda olumbe Ramoti Gileyaadi, okiwangule. Mukama ajja kukikuwa okiwangule.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bannabbi bonna ne balagula bwe batyo, nga boogera nti Yambuka e Lamosugireyaadi olabe omukisa: kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.