2 Chronicles 18:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubaka eyali agenze okuyita Mikaaya yamugamba nti: “Abalanzi bonna wamu balanze kimu nti kabaka ajja kuwangula; naawe langa kye kimu, yogera bisanyusa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omubaka eyali agenze okuyita Mikaaya, n’amugamba nti, “Laba, ebigambo ebya bannabbi bali abalala byogera kyekimu, kale naawe ba bumu nabo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'amugamba nti, “Laba, ebigambo bya bannabbi abalala bonna bye babulidde kabaka ebirungi, nkwegayiridde, ekigambo kyo kibe ng'ebigambo byabwe, oyogere ebirungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya, n'amugamba nti: “Abalanzi abalala bonna ebigambo bye boogedde birungi. Balanze nti Kabaka ajja kuwangula. Nkwegayiridde naawe ekigambo ky'onooyogera kibe ng'ebyabwe, oyogere ebirungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'amugamba nti Laba, ebigambo bya bannabbi bimubuulira kabaka ebirungi n'akamwa kamu: nkwegayiridde, ekigambo kyo kifaanane ekigambo ky'omu ku bo, oyogere ebirungi.
Recommended Reading