2 Chronicles 18:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mikaaya n'amugamba nti: “Mazima Omukama nga mulamu, kyokka Katonda wange ky'anaaba aŋŋambye, kye nnaayogera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mikaaya n’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu Katonda ky’anaŋŋamba ekyo kye nnaayogera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mikaaya n'addamu nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu, Katonda wange ky'anaŋŋamba, ekyo kye nnaayogera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Mikaaya n'addamu nti: “Nga Mukama bw'ali omulamu, Katonda wange ky'anaagamba kye nja okwogera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mikaaya n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, Katonda wange ky'anaagamba, ekyo kye nnaayogera.