2 Chronicles 18:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'ajja ewa kabaka; kabaka n'amubuuza nti: “Mikaaya, ŋŋende nnwanyise Ramoti-Gileyaadi, oba mbireke?” N'amwanukula nti: “Lumba, owangule! Kubanga bajja kuweebwayo mu mikono gyammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yatuuka ewa kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Mikaaya tulumbe Lamosugireyaadi, oba tulekeyo?” N’amuddamu nti, “Mugende mukirumbe, munaakiwangula, kubanga banaaweebwayo mu mukono gwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yatuuka ewa kabaka, kabaka n'amubuuza nti, “Mikaaya, tulumbe Lamosugireyaadi, nantiki tulekeyo?” Mikaaya n'addamu nti, “Mugende mukirumbe, mujja kuwangula, Mukama ajja kubawa obuwanguzi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe yatuuka awali kabaka, kabaka n'amubuuza nti: “Mikaaya, tulumbe Ramoti Gileyaadi tukirwanyise, oba ndekeyo?” Mikaaya n'addamu nti: “Mugende mukirumbe, mujja kuwangula. Mukama ajja kubakuwa obawangule.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yajja eri kabaka, kabaka n'amugamba nti Mikaaya, tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? N'ayogera nti Mwambuke mulabe omukisa; era baligabulwa mu mukono gwammwe.