2 Chronicles 18:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'amugamba nti: “Nnaakomya wa okukulayizanga ombuulire mazima gokka mu linnya ly'Omukama?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kabaka n’amugamba nti, “Nnaakulayizanga emirundi emeka, obutannimbanga wabula okuntegeezanga amazima mu linnya lya Mukama?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'amugamba nti, “Naakulayiza emirundi emeka obutanimba, wabula okumbuulira amazima mu linnya lya Mukama?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'amugamba nti: “Nnaakulayiza emirundi emeka nti bw'oba ombuulira mu linnya lya Mukama, tombuulira kirala kyonna, okuggyako amazima?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'amugamba nti Naakulayiza emirundi emeka oleme okumbuulira ekigambo n'ekimu wabula amazima mu linnya lya Mukama?