2 Chronicles 18:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'amuddamu nti: “Nalaba Yisirayeli yenna ng'asaasaanye ku nsozi ng'endiga ezitaliiko musumba. Omukama n'agamba nti: ‘Bano tebaliiko akulembera; buli omu yeddireyo eka mu ddembe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mikaaya n’addamu nti, “Nalaba Isirayiri yenna, nga basaasaanye ku nsozi ng’endiga ezitalina musumba, Mukama n’ayogera nti, ‘Abantu bano tebalina abakulembera, buli omu addeyo ewaabwe mirembe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mikaaya n'addamu nti, “Ndabye Isiraeri yenna ng'asaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba: Mukama n'agamba nti, ‘ Abo tebalina mukama waabwe: buli muntu addeyo mu nnyumba ye mirembe.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mikaaya n'agamba nti: “Ndabye Abayisirayeli bonna nga basaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba. Mukama n'agamba nti: ‘Abo tebalina mukama waabwe. Buli omu addeyo mirembe mu maka ge.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Ndabye Isiraeri yenna ng'asaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba: Mukama n'ayogera nti Abo tebalina mukama waabwe: baddeyo buli muntu mu nnyumba ye mirembe.