2 Chronicles 18:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba nti: ‘Ani anaalimbalimba Akabu alumbe Ramoti-Gileyaadi afiireyo?’ Omu n'ateesa kino, n'omulala n'ateesa kiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’abuuza nti, ‘Ani anasendasenda Akabu kabaka wa Isirayiri okulumba Lamosugireyaadi n’oluvannyuma afiire eyo?’ “Omu ku bo n’ateesa kino, n’omulala kiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'abuuza nti, ‘Ani anaasendasenda Akabu kabaka wa Isiraeri alumbe Lamosugireyaadi attibwe?’ Omu n'ayogera kino, omulala n'ayogera kiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'abuuza nti: “Ani anaasendasenda Ahabu Kabaka wa Yisirayeli ayambuke e Ramoti Gileyaadi attibwe?” Omu n'ayogera kino, omulala n'ayogera kiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayogera nti Ani anaasendasenda Akabu kabaka wa Isiraeri ayambuke e Lamosugireyaadi agwe; Omu n'ayogera bwatyo; omulala n'ayogera bw'atyo.