2 Chronicles 18:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wayiseewo ebbanga yaserengeta okulaba ku Akabu mu Samariya. Akabu n'attira Yosafati n'abantu be yali nabo endiga n'ente bingi, n'amufukuutirira alumbe Ramoti-Gileyaadi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waayitawo emyaka, n’aserengeta okugenda okulaba ku Akabu e Samaliya. Akabu n’amuteekerateekera ekijjulo eky’amaanyi n’amuttira endiga nnyingi n’ente nnyingi, ye n’abantu be yagenda nabo, era n’amusendasenda okulumba Lamosugireyaadi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe waayitawo emyaka, n'agenda e Samaliya okulaba ku Akabu. Akabu n'amuteekerateekera ekijjulo eky'amaanyi, n'amuttira endiga n'ente nnyingi nnyo, ye n'abantu be yagenda nabo, era n'amusendasenda balumbe Lamosugireyaadi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waayitawo emyaka, n'agenda e Samariya ewa Ahabu. Ahabu n'amuttira, n'abo be yali nabo, endiga n'ente nnyingi nnyo, era n'amusikiririza okugenda naye okulumba ekibuga Ramoti Gileyaadi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo emyaka bwe gyayitawo n'aserengeta eri Akabu e Samaliya. Akabu n'amuttira endiga n'ente nnyingi nnyo, ye n'abantu abaali naye, n'amusemberera okutabaala e Lamosugireyaadi (wamu naye).