2 Chronicles 18:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne gugamba nti: ‘Nzija kugenda mbeere omwoyo ogw'obulimba mu kamwa k'abalanzi be.’ Omukama n'agamba nti: ‘Ojja kumusendasenda, ekyo ojja kukisobola; genda okikole.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda, mbeere omwoyo omulimba mu kamwa ka buli nnabbi we.’ “ Mukama n’agugamba nti, ‘Ggwe onoosobola okumusendasenda, era genda okole bw’otyo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne guddamu nti, ‘Nja kugenda mbeera omwoyo ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna.’ Mukama n'agamba nti, ‘Ggwe onoosobola okumusendasenda. Genda okole bw'otyo.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne guddamu nti: “Nja kugenda njogeze abalanzi be bonna eby'obulimba.” Mukama n'agamba nti: “Ojja kusobola okumusendasenda. Genda okole bw'otyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne gwogera nti Naafuluma ne mbeera omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna. N'ayogera nti Ggwe onoomusendasenda n'okusobola onoosobola: fuluma, okole bw'otyo.