2 Chronicles 18:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olabye nno! Omukama atadde omwoyo gw'obulimba mu kamwa k'abalanzi bo bonna abali wano. Omukama akwogerera kabi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale nno Mukama atadde omwoyo ogw’obulimba mu kamwa ka bannabbi bo, era Mukama akwogeddeko kabi keereere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno, laba, Mukama atadde omwoyo ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi bo bano, era ggwe akwogeddeko bubi bwereere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mikaaya n'afundikira ng'agamba nti: “Kale nno Mukama atadde omwoyo ogw'obulimba mu kamwa k'abalanzi bo bonna, era ggwe akwogeddeko bya kabi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno, laba, Mukama atadde omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi bo bano; era Mukama akwogeddeko akabi.